Exodus 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Misiri n'agamba abazaalisa Abeebureeyi, omu ng'ayitibwa Sifura, n'omulala Puwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa, n’abagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kabaka w'e Misiri n'agamba Sifira ne Puwa, abaazaalisanga Abaebbulaniya nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'e Misiri n'agamba abazaalisa Abeebureeyi, omu erinnya lye Sifura n'omulala Puwa nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w’e Misiri n'abagamba abazaalisa Abaebbulaniya, erinnya ly'omu Sifira, erinnya ly'ow'okubiri Puwa: