Exodus 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abalagira nti: “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abeebureeyi, nga bali mu zzaaliro, omwana bw'abeeranga omulenzi mumuttanga, bw'abeeranga omuwala, mumulekanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga, naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abeebureeyi, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga. Naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Bwe mubakolanga abakazi Abaebbulaniya emirimu egy'obuzaalisa, bwe mubalabanga nga bali ku ntebe; omwana bw'abanga ow'obulenzi, mumuttanga; naye bw'abanga ow'obuwala, abeeranga mulamu.