Exodus 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka abazaalisa abo baali batya Katonda, tebaagondera kiragiro kya kabaka w'e Misiri; abaana ab'obulenzi ne babalekanga ne babeerawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga kabaka w'e Misiri bwe yabalagira, naye ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abazaalisa ne bamutya Katonda, so kebaakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, naye baabakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu.