Exodus 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Misiri n'atumya abazaalisa, n'ababuuza nti: “Lwaki mukoze ekintu kino, ne muleka abaana ab'obulenzi ne babeerawo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo, okuleka abaana ab'obulenzi nga balamu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti: “Lwaki mukola ekyo, ne muleka abaana ab'obulenzi nga balamu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w'e Misiri n'abayita abazaalisa, n'abagamba nti Kiki ekibakoza ekigambo ekyo, ne mubakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu?