Exodus 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazaalisa ne baddamu Faraawo nti: “Abakazi Abeebureeyi tebali nga bakazi Bamisiri, ba maanyi; abazaalisa baba tebannabatuukako nga baazadde dda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abazaalisa ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga bo b'amaanyi, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga baamaze dda okuzaala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abazaalisa ne bagamba kabaka nti: “Abakazi Abeebureeyi tebali nga bakazi Abamisiri, kubanga bo tebakaluubirirwa mu kuzaala: abazaalisa we babatuukirako, nga baamaze dda okuzaala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abazaalisa ne bamugamba Falaawo nti Kubanga abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga balamu, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga bamaze okuzaala.