Exodus 1:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga abazaalisa baawa Katonda ekitiibwa, naye n'abawa amaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kubanga abazaalisa baatya Katonda, Katonda n'abawa amaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana.