Exodus 1:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Faraawo n'awa abantu be bonna ekiragiro kino nti: “Buli mwana ow'obulenzi anaazaalibwanga Abeebureeyi, mumusuulanga mu Kiyira, naye omuwala mumulekanga n'abeerawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'alagira abantu be bonna, n'abagamba nti, “Buli mwana ow'obulenzi alizaalibwa Omwebbulaniya mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'alagira abantu be bonna nti: “Buli mwana Omwebureeyi ow'obulenzi alizaalibwa, mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'alagira abantu be bonna n'ayogera nti Buli mulenzi alizaalibwa mumusuulanga mu mugga, buli muwala mumulekanga.