Exodus 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde lya Yakobo lyonna awamu nga bawera abantu nsanvu. Ye Yozefu yali yabeera dda mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu (70). Naye ye Yusufu yali yabeera dda mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu. Yosefu yali yabeera dda mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna abaava mu ntumbwe za Yakobo ne baba emyoyo nsanvu: naye Yusufu yali ng'amaze okubeera mu Misiri.