Exodus 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayisirayeli baazaala ne babuna wonna ne baala ne bafuuka ba maanyi nnyo nnyo, ne bajjuza ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera obungi, ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula mu nsi yonna ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abazzukulu ba Yisirayeli ne bazaala, ne beeyongera nnyo obungi, ne baba ba maanyi, ne bajjula mu nsi ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera nnyo, ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo; ensi n'ejjula abo.