Exodus 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Yingira eri Faraawo, kubanga ngugubizza omutima gwe, n'egy'abakungu be, ndyoke mbakoleremu obubonero bwange buno,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri Falaawo, kubanga nnyongedde okukakanyaza omutima gwe, n’omutima gw’abaweereza be, ndyoke mbalage ebyamagero byange bino:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka, kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abakungu be, ndyoke nkole ebyamagero byange bino mu bo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe: