Exodus 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nedda. Abasajja mwekka mmwe muba mugenda mutambirire Omukama, anti ekyo kye musaba.” Amangu ago ne babagoba mu maaso ga Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nedda! Abasajja bokka ka bagende basinze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa awali Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nedda, mmwe abasajja abakulu mmwe muba mugenda muweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nedda, abasajja mwekka mmwe muba mugenda muweereze Mukama, kubanga ekyo kye mwagala.” Musa ne Arooni ne bagobebwa mu maaso ga kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nedda mmwe abasajja abakulu mugende kaakano, mumuweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala. Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo.