Exodus 10:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Gololera omukono gwo ku nsi y'e Misiri enzige zizinde ensi y'e Misiri, zirye omuddo, n'ebyo byonna omuzira bye gwaleka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri oyite enzige, zijje ku nsi ya Misiri, zirye buli kantu konna akamera mu nnimiro, n’ebyo byonna omuzira bye gwataliza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri enzige zigwe ku nsi yonna ey'e Misiri; zirye omuddo gwonna ne byonna omuzira bye gwalekawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri, enzige zijje zizinde ensi ey'e Misiri, zirye buli kimera kyonna ekyawonawo mu muzira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri wabe enzige, zirinnye ku nsi ey'e Misiri, zirye buli muddo ogw'ensi, byonna byonna omuzira bye gwalekawo.