Exodus 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agololera omukono gwe ku nsi y'e Misiri, Omukama n'akunsa ku nsi empewo ey'ebuvanjuba, n'ekunta olunaku olwo lwonna n'ekiro. Enkeera, empewo y'ebuvanjuba n'ereeta enzige.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; Mukama Katonda n’aleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku olwo, ezaakunta emisana n'ekiro; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba zaali zireese enzige.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga eyava ebuvanjuba, n'ekunta ku nsi, emisana n'ekiro ku lunaku olwo. Bwe bwakya enkya, embuyaga eyo n'ereeta enzige.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku luli obudde okuziba n'okukya; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba ne zireeta enzige.