Exodus 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enzige ne zizinda ensi yonna ey'e Misiri, ne zigwa nnyingi nnyo mu buli kitundu kyonna ekya Misiri; eziri ng'ezo zaali tezirabikangako ng'ate era si za kuddamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enzige nnyingi nnyo ne zigwa ku nsi yonna ey’e Misiri, ne zigisaanikira, okuva ku nsalo yaayo ey’oluuyi olumu okutuuka ku y’oluuyi olulala. Zaali nzige za kabi kanene, nga tewalabikanga ziri ng’ezo, era tezigenda kulabika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enzige ne zigwa ku nsi yonna ey'e Misiri, zaali nnyingi nnyo, ezitalabwangako okuva edda n'edda lyonna, wadde oluvannyuma lwazo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enzige ennyingi bwe zityo zaali tezirabibwangako era teziriddayo kulabibwa nate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enzige ne zirinnya ku nsi yonna ey'e Misiri, ne zigwa mu nsalo zonna ez'e Misiri: zaali nzibu nnyo; edda n'edda tewabanga nzige nga ezo, newakubadde ennyuma waazo tewalibeera nga ezo.