Exodus 10:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaabikka ettaka kungulu kwonna ne kuddugala, ne zirya byonna, omuddo gwonna ku nsi n'ebibala byonna eby'emiti omuzira bye gwali gutalizza. Tewaali kya kiragala kyasigala ku muti oba ekimera wonna mu nnimiro mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zaabuutikira ensi yonna, ne wabaawo ekizikiza ku nsi; ne zirya buli kimera kyonna mu nsi, n’ebibala byonna eby’emiti omuzira bye gwali gutalizza; era tewaasigalawo kintu kyonna kya kiragala ku miti n’ebimera mu nnimiro, mu nsi yonna ey’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zaabikka ku nsi yonna ey'e Misiri, n'ekwata ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti omuzira bye gwalekawo; ne watasigala kikoola kyonna ku muti, newakubadde omuddo ogw'omu nnimiro mu nsi yonna ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaabikka ensi yonna ey'e Misiri, ne zigiddugaliza ddala. Ne zirya buli kimera kyonna, n'ebibala eby'oku miti ebyawonawo mu muzira, ne watasigala kikoola na kimu ekibisi ku muti, wadde ku kimera ekirala kyonna, mu nsi yonna ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga zaasaanikira kungulu ku nsi yonna, ensi n'efuusibwa ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti, omuzira bye gwalekawo: ne watasigala kintu kibisi, newakubadde omuti newakubadde omuddo ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri.