Exodus 10:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'atumya mangu Musa ne Aroni, n'agamba nti: “Nnyonoonye eri Omukama Katonda wammwe ne gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni bunnambiro, n’abagamba nti, “Nnyonoonye eri Mukama Katonda wammwe ne gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti, “Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, era nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayita mangu Musa ne Arooni, n'agamba nti: “Nkoze ekibi mu maaso ga Mukama ne mu maaso gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, nammwe.