Exodus 10:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbeegayiridde, munsonyiwe ekibi kyange ne ku mulundi guno, ate musabe Omukama Katonda wammwe anzigyeko ekibonerezo kino nnamuzisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbeegayiridde munsonyiwe olw’okwonoona kwange, omulundi guno gwokka; era musabe Mukama Katonda wammwe anziggyeeko olumbe luno lwokka olututta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, era musabe Mukama Katonda wammwe, anzigyeko ekibonyoobonyo kino ekinene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano mbeegayiridde munsonyiwe ekibi kyange omulundi gumu gwokka, era musabe Mukama Katonda wammwe, anzigyeko olumbe luno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, mumusabe Mukama Katonda wammwe, anziyeko olumbe luno lwokka.