Exodus 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'akyusa empewo, n'ekunta nnyo n'amaanyi ng'eva ebugwanjuba, n'esisinkana enzige, n'eziraza mu Nnyanja ey'Ebiwuuwa. Tewaali nzige n'emu yasigala mu bitundu byonna eby'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’aleeta embuyaga ez’amaanyi ennyo nga ziva ebuvanjuba, ne zisitula enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emyufu. Tewaasigala nzige n’emu wonna wonna mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu, newatasigala nzige n'emu mu nsi yonna ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aleeta embuyaga ey'amaanyi ennyo eyava ebugwanjuba, n'etwala enzige, n'ezisuula mu Nnyanja Emmyufu, ne watasigala nzige n'emu mu nsi yonna ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu; tewaasigala nzige n'emu mu nsalo yonna ey'e Misiri.