Exodus 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era olyoke onyumize abaana bo n'abazzukulu engeri gye najoogamu Abamisiri n'obubonero bwe nabakoleramu, nammwe mumanye nti nze Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era naawe onyumize abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, n’ebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olyoke otegeeze abaana bo n'abazzukulu bo obubonero bwange bwe nkoze mu Misiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ggwe osobole okubuulira abaana bo ne bazzukulu bo bye nkoze Abamisiri, n'ebyamagero bye nkoze ku bo, mulyoke mumanye nga Nze MUKAMA.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olyoke obuulire mu matu g'omwana wo ne mu g'omwana w'omwana wo, bye nkoze ku Misiri, n'obubonero bwange bwe nkoze wakati waabwe; mulyoke mumanye nga nze Mukama.