Exodus 10:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewaali n'omu asobola kulaba munne, wadde okusegukako, okumala ennaku ssatu. Naye bo Abayisirayeli yonna gye baali ng'ekitangaala balina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye w’abeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ng’obudde bulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamisiri nga tebasobola kulabagana, era tewali yasobola okuva mu kifo mwe yali okumala ennaku ssatu, naye abaana ba Isiraeri bonna baalina ekitangaala yonna gye baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamisiri ne batasobola kulabagana, era tewali yava mu kifo mwe yali, okumala ennaku ssatu. Naye Abayisirayeli baalina ekitangaala ewaabwe gye baabeeranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tebaalabagana, newakubadde omuntu yenna teyagolokoka mu kifo kye ennaku ssatu: naye abaana ba Isiraeri bonna baalina omusana mu nju zaabwe.