Exodus 10:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'atumya Musa, n'agamba nti: “Mugende musinze Omukama, byokka ebisibo byammwe n'amagana bye binaalekwa emabega. Abaana bammwe bayinza okugenda nammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo n’atumya Musa, n’amugamba nti, “Mugende musinze Mukama. Abaana bammwe nabo mugende nabo, wabula ente zammwe, n’embuzi n’endiga ze ziba zisigala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'ayita Musa n'amugamba nti, “Mugende muweereze Mukama; endiga n'ente zammwe zisigale, naye abaana abawere mugende nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayita Musa n'agamba nti: “Mugende muweereze Mukama. Abaana bammwe abato nabo bagende nammwe. Endiga n'embuzi ze ziba zisigala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'ayita Musa n'ayogera nti Mugende muweereze Mukama; endiga zammwe n'ente zammwe ze zibazisigala zokka: abaana abawere nabo bagende nammwe.