Exodus 10:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addamu nti: “Anti ojja kutuwa ebyonziira n'ebitambiro ebyokye bye tunaaweereza eri Omukama Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa n’addamu nti, “Osaana otuleke tutwale ebisolo eby’okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'amuddamu nti, “Bwe kiba bwe kityo oba olina okutuwa ensolo n'ebiweebwayo ebyokebwa, bye tunaawaayo nga ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba nti: “Era oteekwa okutuwa ensolo ez'okutambira, n'ez'okuwaayo nga nnamba eri Mukama Katonda waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera nti Kikugwanidde nate okutuwa mu mikono gyaffe saddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe.