Exodus 10:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amagana gaffe tujja kugenda nago, wadde ekinuulo ekimu kiti tekijja kulekwa mabega. Anti mu byo mwe tuggya eby'okuweereza Omukama Katonda waffe. Nga tetunnatuuka mu kifo, naffe ffennyini tetumanyi ngeri gye tunaaweerezamu Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ente zaffe tusaana okugenda nazo; tewali nsolo n’emu eneesigala. Kubanga kitusaanira okuzitwala nga tugenda okusinza Mukama Katonda waffe; kubanga tujja kumala kutuuka eri, ne tulyoka tumanya kye tunaakozesa mu kusinza Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tuteekwa okugenda n'amagana gaffe; waleme kusigalawo nsolo n'emu, kubanga tuteekwa okulondamu ensolo ezeetaagibwa mu kuweereza Mukama Katonda waffe. Naye tetumanyi nsolo ziryetaagibwa mu kuweereza Mukama, okutuusa nga tumaze okutuukayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagana gaffe nago gateekwa okugenda naffe, tewali nsolo n'emu gye tunaaleka, kubanga tuteekwa okulondamu ensolo ezeetaagibwa mu kuweereza Mukama Katonda waffe. Era tetumanyi nsolo ziryetaagibwa mu kuweereza Mukama, okutuusa lwe tulimala okutuukayo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'amagana gaffe galigenda naffe; tewalisigala kinuulo n'ekimu; kubanga kitugwanidde okuzitwalako, tuweereze Mukama, Katonda waffe; era tetumanyi bye tulimuweerezesa Mukama, okutuusa lwe tulituuka eyo.