Exodus 10:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'agamba Musa nti “Genda! Nva mu maaso! Weegendereze, tokomangawo kuntunula mu maaso, kubanga olunaku lw'olidda n'ontunula mu maaso, oli wa kufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’agamba Musa nti, “Nva mu maaso! Era weekuume, sikulabanga ng’okomyewo w’endi; bwe ndiddayo okukulaba tolirema kufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'amugamba nti, “Vva we ndi, weekuume, oleme kuddayo kulabika mu maaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabika mu maaso gange ogenda kufa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Musa nti: “Va we ndi! Weekuume, oleme kudda mu maaso gange mulundi mulala, kubanga ku lunaku lw'olirabika mu maaso gange, ogenda kufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'amugamba nti Vaawo wendi, weekuume, oleme okulaba amaaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabiramu amaaso gange, olifa.