Exodus 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni ne bayingira eri Faraawo ne bamugamba nti: “Omukama Katonda w'Abeebureeyi agambye nti: ‘Onootuusa wa okugaana okuŋŋondera? Leka abantu bange bagende bansinze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “ Mukama Katonda wa Abaebbulaniya n’agamba bw’ati nti, ‘Olituusa ddi ng’okyagaanye okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende, bansinze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange, bampeereze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bamugamba nti: “Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: ‘Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende bampeereze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange, bampeereze.