Exodus 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zijja kubuutikira ettaka, ziwemberere kungulu nga n'ettaka terikyalabika. Zijja kulya ebyammwe ebyawona omuzira, era zijja kulya emiti gyammwe gyonna egikula mu nnimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zijja kubikka ensi yonna, wabulewo n’omuntu w’ayisa eriiso okulaba ettaka. Zijja kulya ebyo omuzira bye gwalekawo, zirye ne buli muti ogukula mu nnimiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ziribikka ensi ereme okulabika, zirirya byonna omuzira bye gwataliza n'emiti gyonna egy'omu nnimiro;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
zibikkire ddala ensi ereme okulabika. Zijja kulya byonna, omuzira bye gutaazikiriza, n'emiti gyonna egiri mu nnimiro zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
zirisaanikira kungulu ku nsi, ensi ereme okulabika: zirirya ebisigadde ebyawonawo, omuzira bye gwabalekera, ne zirya buli muti ogubamerera mu nsuku: