Exodus 10:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zinajjuza embiri zo n'ennyumba z'abakungu bo n'ez'Abamisiri zonna. Bakitaawo ne bajjajjaabo tebalabanga ku kino bukya basenga mu nsi n'okutuusa ku lunaku lwa leero.’ ” Awo Musa n'akyuka n'ava mu maaso ga Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zinajjuza amayumba go, n’amayumba g’abakungu bo bonna, n’amayumba g’Abamisiri bonna; ekyo bakadde bo, ne bakadde ba bakadde bo nga tebakirabangako kasookedde babeera mu nsi eno n’okutuusa leero.’ ” Musa n’akyuka n’aviira Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era enzige zirijjula ennyumba zo, n'ezabaddu bo, n'ez'Abamisiri zonna; ziriba nnyingi nnyo, era nga bakitammwe ne bajjajjammwe tebazirabangako kasookedde ensi ebaawo.’ ” Musa n'akyuka, n'ava awali Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era zijja kujjuza ennyumba zo n'ennyumba z'abakungu bo, n'ez'Abamisiri bonna. Enzige ezo zijja kuba mbi okusinga ezo bakitammwe ne bajjajjammwe ze baali balabyeko mu biseera byabwe n'okutuusa kaakano.’ ” Musa n'akyuka n'ava awali kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ennyumba zo zirijjula, n'ennyumba z'abaddu bo bonna n'ennyumba z'Abamisiri bonna: nga bakitaawo bwe bataalaba newakubadde bakitaabwe ba kitaawo, okuva lwe baabeerawo ku nsi okutuusa leero. N'akyuka, n'ava eri Falaawo.