Exodus 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu ba Faraawo ne bamugamba nti: “Omusajja ono anaatuusa wa okututega? Leka abantu bagende basinze Omukama Katonda waabwe. Na kati tonnamanya nti Misiri ezikiridde?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ng’atufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bw’eweddewo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa wa okututawaanya? Leka abantu, bagende baweereze Mukama Katonda waabwe; tonnamanya nga Misiri yonna efaafaaganye?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu ba kabaka ne bamugamba nti: “Omusajja ono alituusa wa okututawaanya? Leka abantu bagende baweereze Mukama Katonda waabwe. Tonnamanya nga Misiri ezikiridde?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti Alituusa wa ono okutubeerera omutego? Leka abantu, baweereze Mukama Katonda waabwe: tonnamanya nga Misiri efudde?