Exodus 10:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni ne bazzibwayo ewa Faraawo, n'abagamba nti: “Mugende musinze Omukama Katonda wammwe. Naye be baani abo abanaagenda?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa ne Alooni ne bazzibwa awali Falaawo. N’abagamba nti, “Kale, mugende musinze Mukama Katonda wammwe. Naye abagenda be baani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne bakomezebwawo eri Falaawo; n'abagamba nti, “Kale mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe; naye b'ani abanaagenda nammwe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa ne Arooni ne bazzibwa mu maaso ga kabaka, n'abagamba nti: “Kale mugende muweereze Mukama Katonda wammwe. Naye b'ani abanaagenda?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bazzibwa Musa ne Alooni eri Falaawo: n'abagamba nti Mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe: naye b'ani abaligenda?