Exodus 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addamu nti: “Tujja kutwala abavubuka baffe n'abasajja baffe abakulu; tujja kutwala batabani baffe ne bawala baffe, endiga zaffe n'ente zaffe, kubanga ku ffe mbaga nkulu olw'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addamu nti, “Abakulu n’abato, batabani baffe ne bawala baffe bonna tujja kugenda nabo; era tugenda n’amagana gaffe n’ebisibo byaffe, kubanga waliwo embaga gye tujja okukolera Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addamu nti, “Tunaagenda n'abaana baffe abato, ne bakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi, n'ab'obuwala, n'endiga n'ente zaffe; kubanga tuteekwa okukolera Mukama embaga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'addamu nti: “Ffenna tujja kugenda wamu n'abaana baffe abato, n'abantu baffe abakadde, n'abaana baffe ab'obulenzi n'ab'obuwala. Era tujja kutwala endiga zaffe n'ente zaffe, kubanga tuteekwa okukolera Mukama embaga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera nti Tuligenda n'abaana baffe abato era n'abakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi era n'abaana baffe ab'obuwala, n'endiga zaffe era n'ente zaffe bwe tuligenda; kubanga obubi buli mu maaso gammwe kubanga kitugwanidde ffe okukolera Mukama embaga.