Exodus 11:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Ekibonerezo kimu kye ŋŋenda okwongera okuleetera Faraawo. Ekyo nga kiwedde, ajja kubaleka muve wano mugende. Bw'alibagoba, agenda kubagobera ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ekyaliyo ekibonoobono kimu kye nzija okuleetera Falaawo n’ensi y’e Misiri. Oluvannyuma lwakyo ajja kubaleka mugende; ate bw’anaabakkiriza okugenda, ajja kubeegoberako ddala bwegobi abasindiikirize.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Njakuleetera Falaawo ne Misiri ekibonyoobonyo kimu kyokka, n'oluvannyuma alibaleka ne mugenda; bw'alibaleka, alibagobera ddala okuva mu nsi muno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kusindikira kabaka w'e Misiri n'abantu be ekibonerezo ekirala kimu kyokka, oluvannyuma ajja kubaleka mugende, abagobe na bugobi muno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba Musa nti Ekibonoobono kimu nate kye ndimuleetera Falaawo ne Misiri; oluvannyuma alibaleka okuvaamu: bw'alibaleka, mazima alibagobera ddala muno.