Exodus 11:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebikuuno bino byonna Musa ne Aroni baabikolera mu maaso ga Faraawo. Naye Omukama yakakanyaza omutima gwa Faraawo, n'ataganya Bayisirayeli kuva mu nsi ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa ne Alooni baakolera ebyamagero ebyo byonna awali Falaawo; naye Mukama yakakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atakkiriza baana ba Isirayiri kuva mu nsi ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo; Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'ataleka baana ba Isiraeri kuva mu nsi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni ne bakola ebyamagero bino byonna mu maaso ga kabaka. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu ba Yisirayeli kuva mu nsi ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo: Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabaleka abaana ba Isiraeri okuva mu nsi ye.