Exodus 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuutira abantu nti: ‘Buli musajja asabanga muliraanwa we na buli mukazi asabe munne ebintu ebya ffeeza ne zaabu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, tegeeza abantu, buli musajja asabanga muliraanwa we, ne buli mukazi asabanga muliraanwa we, ebintu eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano gamba abantu, buli musajja asabe muliraanwa we, era na buli mukazi asabe muliraanwa we, ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano yogera eri Abayisirayeli, ogambe abasajja n'abakazi, basabe baliraanwa baabwe, babawe ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera kaakano mu matu g'abantu, basabe buli musajja eri muliraanwa we na buli mukazi eri muliraanwa we ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu.