Exodus 11:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'awa abantu omukisa mu maaso g'Abamisiri, era nga Musa yali muntu mukulu nnyo mu nsi y'e Misiri, mu maaso g'abakungu ba Faraawo ne mu g'abantu abalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aleetera Abamisiri okukwanagana n’abaana ba Isirayiri; ne Musa n’aweebwa nnyo ekitiibwa mu nsi y’e Misiri. Abakungu ba Falaawo n’abantu bonna ne bamugulumiza nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'awa Abaisiraeri okwagalibwa Abamisiri. Naddala Musa, ate ye yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri; mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'awa Abayisirayeli okwagalibwa mu Bamisiri. Naddala abakungu ba kabaka n'abantu bonna, ne balaba nga Musa mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri. Nate omuntu Musa yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri, mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu.