Exodus 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muggulanda yenna mu Misiri ajja kufa, okuva ku muggulanda wa Faraawo atudde ku nnamulondo okutuuka ku muggulanda w'omuzaana aweereza ku lubengo olusa; era na buli kiggulanda kyonna eky'ensolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibereberye mu nsi y’e Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye w’omuwala omuzaana asa ku lubengo; era n’ebibereberye byonna eby’ebisolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuusa ku mubereberye w'omuzaana asa ku lubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi mu nsi ey'e Misiri bajja kufa, okuva ku wa kabaka atuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku w'omuzaana asa ku lubengo. N'abaana b'ensolo ababereberye nabo bajja kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuuka ku mubereberye w'omuzaana ali ennyuma w'olubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo.