Exodus 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu bo bano baliserengeta gye ndi ne bavunnama mu maaso gange nga bagamba nti: “Genda ggwe n'abantu bonna abakugoberera.” Ekyo nga kiwedde, ŋŋenda kugenda.’ ” Musa n'ava mu maaso ga Faraawo ng'obusungu bumwesera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe n’abantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lw’ebyo nange ndigenda.” N’ava awali Falaawo n’obusungu bungi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abaddu bo bano bonna balijja gye ndi, ne banvuunamira nga boogera nti, ‘Genda n'abantu bo bonna abakugoberera,’ era oluvannyuma ndigenda.” Musa n'ava eri Falaawo n'obusungu bungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu bo bano bonna bajja kujja gye ndi banvuunamire nga bagamba nti: ‘Genda n'abantu bo bonna b'okulembera.’ Ebyo nga biwedde, nja kugenda.” Musa n'ava awali kabaka n'obusungu bungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaddu bo bano bonna baliserengeta gye ndi balivuunamira nze, nga boogera nti Genda n'abantu bo bonna abakugoberera: oluvannyuma ndigenda. N'ava eri Falaawo n'obusungu bungi.