Exodus 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Faraawo tajja kukuwuliriza; bwe kityo ebikuuno byange byeyongere obungi mu nsi y'e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yali agambye Musa nti, “Falaawo tagenda kuwuliriza by’omugamba, bwe ntyo ndyoke nkolere ebyamagero byange bingi mu Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Falaawo talibawulira; eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Kabaka tajja kubawuliriza, ndyoke nnyongere okukola ebyamagero mu nsi ey'e Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba Musa nti Falaawo talibawulira: eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri.