Exodus 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukalyanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu mu kiwato, nga n'engatto zammwe zibali mu bigere byammwe; mukalyanga emiggo gyammwe gibali mu ngalo. Mukalyanga mu bwangu, anti eno ye Pasika y'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe, nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, nga mwambadde engatto, nga mukutte n'emiggo mu mikono gyammwe, mugiryanga mangu; kubanga okwo kwe kuliba okuyitako kwa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaagirya mangu mangu, nga mwetegekedde olugendo: nga mwesibye ebimyu, nga mwambadde n'engatto mu bigere, era nga mukutte n'omuggo mu ngalo. Eyo y'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako kwa Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama.