Exodus 12:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusaayi guliba akabonero ku mmwe, bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako ne muwona ekibonerezo eky'okuzikiriza ku olwo lwe ndikuba ensi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu; nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe mu mmwe olulibazikiriza bwe ndiyita mu nsi ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nnaaba mbonereza ensi ey'e Misiri, omusaayi ku myango gy'enzigi, gwe gunaaba akabonero akalaga ennyumba ze mulimu. Bwe nnaalaba omusaayi, mbayiteko mmwe nneme kubakolako kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri.