Exodus 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku luno munaalujjukiranga; mulukuzanga ng'embaga olw'Omukama, muli ba kulukuzanga amazadde gammwe gonna. Etteeka lino lya mirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Olunaku luno lunaababeereranga lwa kijjukizo, era munaalukuumanga ne mulukwata nga lwa mbaga ya Mukama mu mirembe gyammwe gyonna egiriddiriŋŋana. Lino lifuuse tteeka ery’emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, nammwe munaalukuumanga ng'embaga ya Mukama ey'etteeka eritaggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwo munaalukuumanga okujjukira ebyo Nze Mukama bye nkoze. Munaalukuumanga ennaku zonna, nga lunaku lukulu, era nga lwa tteeka ery'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, na mmwe munaalwekuumanga embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga embaga mu tteeka eritaggwaawo.