Exodus 12:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Okumala ennaku musanvu munaalyanga migaati egitazimbulukuse. Ku lunaku olusooka, mu nnyumba zammwe, muggyangamu ekizimbulukusa, kubanga buli yenna alya emigaati egizimbulukuse okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olwomusanvu wa kukutulwanga ku Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; era ku lunaku olusooka, mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa mukiggiranga ddala mu nnyumba zammwe, kubanga alivumbulwa ng’alidde omugaati ogulimu ekizimbulukusa, okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olw’omusanvu, aligobebwa mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olwolubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga buli alya emigaati egizimbulukusiddwa okuva ku lunaku olwolubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, anaaboolebwanga mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Okumala ennaku musanvu, munaalya migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'olubereberye, munaggya ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga mu nnaku ezo omusanvu, buli anaalya emigaati egizimbulukusiddwa, anaaba takyabalirwa mu Bayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukuswa; era ne ku lunaku olw'olubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya emigaati egizimbulukuswa okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, omwoyo ogwo gulisalibwa ku Isiraeri.