Exodus 12:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olusooka kunaabangako olukuŋŋaana olutukuvu, era ne ku lunaku olwomusanvu. Ku nnaku ezo temukolerangako mulimu gwonna, okuggyako okutegeka emmere buli omu gy'anaalya. Ekyo kyokka kye muyinza okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu, ne ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu; ennaku ezo temuzikolerangako mulimu gwa ngeri yonna, okuggyako okufumba emmere abantu bonna gye banaalya, kye kyokka kye mujjanga okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omusanvu mulibeera n'okukuŋŋaana okutukuvu. Temukolanga mirimu gyonna mu nnaku ezo, wabula egyo gyokka egyetaagisa okuteekateeka emmere gye munaalya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'olubereberye n'olw'omusanvu, munaakuŋŋaana okusinza. Tewaabe mirimu gikolebwa mu nnaku ezo, okuggyako egyetaagisa okuteekateeka emmere gye munaalya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku lunaku olw'olubereberye walibabeerera okukuŋŋaana okutukuvu, era ku lunaku olw'omusanvu okukuŋŋaana okutukuvu; emirimu gyonna gyonna gireme okukolebwa mu nnaku ezo, wabula gye yeetaaga buli muntu okulya, egyo gyokka kye kirungi okukolebwa mmwe.