Exodus 12:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukuse mugikuzanga, kubanga ku lunaku olwo lwennyini kwe ndiggyira ebibinja byammwe byonna mu nsi y'e Misiri. Olunaku olwo mulukuzanga amazadde gammwe gonna. Etteeka lino lya mirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukwatanga Embaga ey’Emigati Egitali mizimbulukuse, kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe naggyira ebika bya Isirayiri mu nsi y’e Misiri. Noolwekyo olunaku luno munaalukwatanga n’ab’omu mirembe gyonna egiriddawo. Ekyo kiragiro eky’emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa; kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe nnaggyira ekibiina kya Isiraeri kyonna okuva mu nsi ey'e Misiri; kye munaavanga mwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna ng'etteeka eritaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukuumanga Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, kubanga ku lunaku olwo lwennyini lwe nnaggyirako ebika byammwe mu nsi ey'e Misiri, kyemunaavanga mulukuuma ennaku zonna nga lwa tteeka ery'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa; kubanga ku lunaku luno lwennyini lwe nziyiddemu eggye lyammwe mu nsi ey'e Misiri: kye munaavanga mulwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna mu tteeka eritaggwaawo.