Exodus 12:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo omusanvu, mu nnyumba zammwe, temusangibwangamu kizimbulukusa, kubanga buli alirya emigaati egizimbulukuse, alikutulwa ku kibiina kya Yisirayeli, ne bw'aliba omugwira wadde omuzaaliranwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okumala ennaku musanvu mu nnyumba zammwe temulabikangamu ekizimbulukusa; era alivumbulwa ng’alidde ekintu kyonna omuli ekizimbulukusa, agenda kugobwa mu Isirayiri, ne bwaliba omuzaaliranwa oba omugwira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku ezo omusanvu ekizimbulukusa tekibeeranga mu nnyumba zammwe; kubanga buli muntu alirya ekizimbulukusiddwa, oba nzaalwa oba munnaggwanga, aliboolebwa mu kibiina kya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa tekiibeerenga mu nnyumba zammwe, kubanga buli alirya ekizimbulukusiddwa, k'abe mugwira oba mwana nzaalwa, aliba takyabalirwa mu kibiina kya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku musanvu ekizimbulukusa tekirirabika mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya ekizimbulukuse, omwoyo ogwo gulisalibwa ku kibiina kya Isiraeri, bw'aliba munnaggwanga oba nga nzaalwa.