Exodus 12:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'atumya abakulu bonna aba Yisirayeli, n'abagamba nti: “Mugende mulondobemu akaliga ku lwa buli maka gammwe, mutte akaliga ka Pasika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’ayita abakulembeze ba Isirayiri bonna, n’abagamba nti, “Mwerondere abaana b’endiga ng’amaka gammwe bwe gali, mutte omwana gw’endiga ogw’Okuyitako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'alyoka ayita abakulembeze bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti, “Buli muntu alonde omwana gw'endiga oba ogw'embuzi, ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mugutte olw'okukwata okuyitako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ayita abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli, n'abagamba nti: “Buli omu mu mmwe alonde omwana gw'endiga oba embuzi ento, amaka gakuze Okuyitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'alyoka abayita abakadde bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti Mulonde mwetwalire abaana b'endiga ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mutte okuyitako.