Exodus 12:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muddire akaganda aka yissopo, mukannyike mu musaayi oguli mu kibya, musiige waggulu ku mwango ogw'obukiika ne ku gw'obusimba, erudda n'erudda; tewabangawo n'omu mu mmwe afuluma nnyumba mw'ali, okutuusa enkeera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musibe bulungi akaddo k’akakubansiri, mukannyike mu musaayi gwe mutadde mu bensani, mulyoke mumansire ku mwango gw’oluggi waggulu, ne ku njuyi zombi ez’omwango. Tewabaawo n’omu afuluma ennyumba ye okutuusa ng’obudde bukedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe mulitwala akasaaganda ka ezobu ne mukannyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mugusiiga ku mwango, mu mbiriizi ne waggulu; omuntu yenna tafulumanga mu nnyumba ye okutuusa enkya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaakwata akaganda k'obuti obuyitibwa yisopo, ne mukannyika mu musaayi oguli mu kibya, mugusiige ku myango gyombi egy'enzigi, ne waggulu w'enzigi z'ennyumba zammwe. Tewaba n'omu ku mmwe afuluma nnyumba ye, okutuusa ku makya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe mulitwala omuvumbo gwa ezobu ne munnyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mumansulira ku kabuno n'emifuubeeto gyombi n'omusaayi ogw'omu kibya; temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw'ennyumba ye okutuusa enkya.