Exodus 12:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Omukama ajja kuyita mu nsi ng'agenda akuba Abamisiri. Bw'anaalaba omusaayi ku mwango ogwa waggulu ne ku myango erudda n'erudda, ajja kuyita buyisi ku mulyango gw'ennyumba, tajja kuleka oli azikiriza kujja ku nnyumba yammwe kubakuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama aliyita okutta Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku mwango, mu mbiriizi ne waggulu, Mukama aliyita ku nnyumba eyo so talikkiriza muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bw'anaayita okutta Abamisiri, n'alaba omusaayi waggulu w'enzigi ne ku myango gyombi, anaayita ku mulyango, n'ataleka muzikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe kubatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama aliyita okukuba Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku kabuno ne ku mifuubeeto gyombi, Mukama aliyita ku mulyango, so talireka muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubakuba.