Exodus 12:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubabuuliranga nti: ‘Kye kitambiro kya Pasika ku lw'Omukama, eyayita ku nnyumba z'Abayisirayeli mu Misiri, amale atte Abamisiri, n'ataliza ennyumba zaffe.’ ” Abantu ne bavunnama ne basinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulibaddamu nti, ‘Eno ye ssaddaaka etujjukiza okuyitako kwa Mukama, bwe yayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'atta Abamisiri, ffe n'atuwonya. Abantu ne bavunama ne basinza.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaddangamu nti: ‘Kye kitambiro eky'Okuyitako kwa Mukama, kubanga yayita ku nnyumba z'Abayisirayeli mu Misiri, bwe yatta Abamisiri, naye n'ataliza ennyumba zaffe.’ ” Abayisirayeli ne bakutamya emitwe gyabwe ne basinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulyogera nti Ye ssaddaaka ey'okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n'awonya ennyumba zaffe. Abantu ne bakutama ne basinza.