Exodus 12:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bagenda, ne bakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa ne Aroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Arooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.