Exodus 12:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ttumbi, Omukama n'atta buli kiggulanda kyonna mu nsi y'e Misiri, okuva ku muggulanda wa Faraawo eyali atudde ku nnamulondo, okutuukira ddala ku w'omusibe mu kkomera na buli kiggulanda eky'ekisolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekiro mu ttumbi Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali ow’okumusikira, okutuuka ku mubereberye w’omusibe ali mu kkomera; era n’ente embereberye zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'atta abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo ow'okutuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu ttumbi, Mukama n'atta abaana bonna abaggulanda ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mwana omuggulanda owa kabaka eyali atudde ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku mwana ow'omusibe mu kkomera. Era n'abaana ababereberye ab'ensolo nabo ne bafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'akuba abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo eyatuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo.